Program Entanda ya Buganda Diaspora eya 2025 egyibwako akawuuwo ku saawa nnya ezekiro, nga 15 September.
Abantu ba Kabaka ababeera ebweru wa Uganda bagenda kubbinkana mu bibuuzo by’Olulimi oluganda ng’Omuwanguzi wakufuna ekyapa nga kyakumukwasibwa mu Nkuuka ya Cbs nga 31 December mu Lubiri e Mengo.
Abajja musiike leero kuliko Mubiri Kayanga Robert ow’emmamba, Naluyinda Betty eyeddira e Nkima, Busuulwa Joseph owe Kkobe , Lutaaya Lawrence wa ηηonge , Kimbugwe Martin Omulangira ne Ssekalembe Junior Charles owe Kkobe.
Akulira ebiweerezebwa ku mpewo za Cbs, Hajji Abby Mukiibi Nkaaga akasisizza nti buli kimu kiwedde okutandika Entanda.
Omukungu Lubega Ssebende omu kubalumuzi mu Ntanda agambye nti basuubura entanda eno okubeera eyenjawulo, olw’enteekateeka ezizze zikolebwa.










