Abemegganyi abeetaba mu Program Entanda ya Buganda 2024, mu butongole bakwasiddwa ebirabo byabwe.
Omukolo gubadde mu luggya lwa Bulange e Mengo gukulembeddwamu Ssenkulu wa Radio CBS Omukungu Michael Kawooya Mwebe, eea n’asuubiza nti Entanda y’omwaka guno 2025 egenda kuba ya njawulo nnyo okukira ku ezo ezzizze zibaawo.

Omukungu Kawooya Mwebe akuutidde abaweereddwa ebirabo okubikozesa obulungi, okuweesa Ssaabasajja Kabaka Ekitiibwa n’okuganyula abalala ate nabo okukyusa obulamu bwabwe.
Mu ngeri ey’enjawulo Omukungu Kawooya yeebazizza bannaddiini abeetaba mu program eno ng’Abasoyissoyi, olwokulafuubana okutambulira awamu n’abantu bebalyowa emyoyo nebabeera olujegere olugatta eddiini n’ebyobuwangwa.
Mu bano kuliko Rev. Fr. Claudio Ssaava Sseggonja okuva mu kigo ky’e Nakawuka, Rev Ssaalongo Sserunjoji okuva mu Busumba bw’e Kabowa mu Kkanisa ya Uganda n’Omusumba Peter Nsereko Male atwala ekkanisa ya SDA Ntebe Church district.
Avunaanyizibwa ku by’emirimu Omuk.Robert Kasozi agambye nti mu Ntanda y’omwaka guno 2025 abamegganyi baakuvuganyiza mu bika byabwe n’amasaza, olwo Ekika n’essaza omunaava Omuzira mu Bazira nakyo kiwangule ekirabo.
Omuzira mu bazira w’Entanda ya Buganda 2024 muzzukulu wa Gabunga era Omukyaddondwa Kizito John Lukoma, Ssaabasajja yamukwasa ekyapa ky’ettaka, nga leero aweereddwa piki piki kapyata, kavu w’ensimbi obukadde butaano, Solar n’ebigenderako, Omufaliso, akuuma akasunda amazzi, ssabbuuni, ssuukaali n’ebirala.
Omuzira mu Bazira Diaspora naye ow’Emmamba Kizito George william awangaalira mu Qatar naye Ssaabasajja yamukwasa ekyapa.
Omuzira nnamba bbiri, era omukyala yekka eyatuuka mu Lubiri ku Nkuuka, Nanteza Grace naye aweereddwa Piki piki, ensimbi enkalu obukadde busatu, Solar, Omufaliso, akuuma akapika amazzi, ssukaali ne ssabbuuni.
Abazira abalala abaatuuka mu lubiri nabo baweereddwa ebirabo eby’enkizo.
Abamegganyi abalala abaakoma mu Studio baweereddwa ebirabo okuli emifaliso ne kirimuttu.
Omutaka Gabunga omukulu w’ekika ky’Emmamba mu bubaka bwatisse Omuwandiisi w’ekika era ow’Omutuba gwa Bukulubwawadda mu kika ky’Emmamba era omuwandiisi w’ekika Andrew Benon Kibuuka, yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja olw’okutandikawo Radio ye CBS n’etandikawo enteekateeka ya Program Entanda ya Buganda eganyudde Obuganda ebitagambika.

Omutaka Gabuga yeebazizza nnyo bazzukulu be ababiri Abazira mu bazira olw’okulwana amasajja nebawangula ebibuuzo ebikakali n’okukuumira ekika ky’Emmamba ku ntikko.
Omumyuka w’omuteesiteesi w’ebiweerezebwa ku mpewo za CBS Big Brother Martin Oscar Kintu yeebazizza nnyo abavujjirizi ba Program Entanda ya Buganda olw’okwewaayo nebassa ensimbi mu program eno, n’asuubiza nti n’omwaka guno Program yakweyongeramu ebinnonoggo.
Agambye nti sibaakuseeseetuka ku mulamwa ogw’okusomesa, okutumbula obuwangwa n’ennono za Buganda wamu n’Olulimi Oluganda omuli n’Okusomesa abantu be.
Omuteesiteesi omukulu owa Program Entanda ya Buganda Godfrey Male Busuulwa agambye nti Program yatambula bulungi nga yeetabwamu abantu 60, omuli abaami, abavubuka abasajja, abakyala n’abakadde.
Abaweereddwa ebirabo essanyu libakutte emba zombi nebeeziribanga nga beeyanza Ssaabasajja olw’okubafuula abantu ab’enjawulo era abeenyumiriza ennyo mu Radio ye CBS.
Program Entanda ya Buganda yatandika mu mwaka 2003 era ng’abazze bafuna eky’Omuzira mu bazira bazze baweebwa ettaka okuteereddwa eby’enkulaakulana naddala masomero ku mitendera okuli Primary ne Secondary.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.