Abamu ku banna n’akibiina kya Democratic Party beraliikirivu nti boolekedde okusibibwa ebweru olw’omutemwa gw’ensimbi ogulina okusasulwa abaagala okuvuganya ku bukulembeze obwenjawulo mu kibiina ogugambibwa nti gugenda kulinnyisibwa.
Ensonda mu DP zitegeezezza CBS nti president wabwe Nobert Mao ne Ssaabawandiisi wakyo Gerald Siranda balina ekiteeso ekikyali mu bubage kyebagala okutembeeta, ng’omuntu okuvuganya kubwa Presidenti bw’ekibiina kino alina okusala shs obukadde 20 ezokwewandiisa bave ku bukadde 5 .
Avuganya ku bwa Ssabawandiisi abadde asasula obukadde 3 nebamuteeka ku bukadde 15,ate abamyuka ku bifo ebyenjawulo bagala bave ku kakadde 1 bagende 5.
Abakulira ebitongole ebyenjawulo mu kibiina bagala bave ku bukadde 3 bagende ku bukadde 10 ekitabudde abamu ku banna kibiina nga bagamba nti abakulu bandiba nga bagala kubalemesa.
Wabula CBS bwetuukiridde Ssabawandiisi w’ekibiina kya Dp Gerald Siranda agambye nti abatutte ensonga zino mu mawulire bagenderera kubavumaganya n’okubasiiga enziro ng’abakulembeze, nti naye ensonga bwenabeera ntuufu ejakwanjulibwa mu kakiiko akafuzi kekanaasalawo.
Siranda era akinogaanyizza nti bagenda kutandika enteekateeka z’okuzza obuggya enkalala z’abalonzi mu ggwanga lyonna ng’ekibiina, ng’omuntu atewandiise mu nteekateeka eno tasuubira okwetaba mu kalulu akanaakubwa omwezi ogujja ogwa May,2025 mwebasuubira okulondera abakulembeze abajja ab’ekibiina.#