Wabaddewo akasattiro ku police ya Kira road mu Kampala, ennyumba z’abasirikale ezaateekebwa ku police eno bwezikutte omuliro ogutategerekese kweguvudde, ebintu by’abasirikale bisanyeewo.
Kigambibwa nti omuliro guno guvudde mu nnyumba y’omusirikale omu negukwatta ennyumba endala.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti okunoonyereza kwebaakakolawo kulaga nti omuliro guno gulabika guvudde ku sigiri eyalekeddwa munnyumba y’omusirikale omu, naye bakyayongera okwetegereza okuzuula ekituufu.
Ennyumba z’abasirikale 7 zezisaanyeewo.#