Wabaddewo akasattiro ku kisawe ky’e nnyonyi Entebbe, ennyonyi ya Rwanda Air CJR 9 namba 464 bwewabye neeva ku ƞƞanzikiro oba ku luguudo lw’ennyonyi kwezitambulira (runway) nga kyejje etuuke ku kisaawe.
Bino bibaddewo ku ssaawa nga kkumi neemu n’eddakiika 31, ng’obudde bukya olwa leero.
Abakulu mu kitongole ky’ebyennyonyi ki Uganda Civil Aviation Authority bategezezza nti embeera y’obudde ebadde mbi olw’enkuba ebadde etonnya,yereetedde ennyonyi eno okuwaba neeva ku luguudo lwayo neyingirira omuddo.
Ensonda zitubuuliidde nti akasattiro kabadde kamaanyi era wabaddewo vaawo mpiteewo,nga abakulu ku kisaawe kye nnyonyi tebamanyi kyakuzaako, nekitaataganya n’entambula z’ennyonyi endala.
Omwogezi wa Uganda Civil Aviation Authority Vianny Luggya ategezezza cbs radio yobujajja nti abakugu batandise dda okwekeneenya embeera okulaba nga etereezebwa.
Agambye nti abasaabasaze bonna ababadde ku nnyonyi eno bagiddwamu bulungi era tewali afunye buzibu bwonna.
Rwanda Air CJR9 namba 464 ebaddemu abasaabaze 60,ebadde eva Nairobi mu Kenya.