Government ewakanyizza okusaba kwabannakyewa okw’okukkiriza abakyala n’abawala okuweebwa ennaku ez’oluwummula nga batuuse mu nnaku zabwe ez’ensonga buli mwezi, okubasobozesa okuziyitamu mu mirembe.
Bannakyewa mu kibiina ekitakabanira abaana abawala n’abawangaala nakawuka ka Mukenenya, ekya Uganet, baaleese ekirowoozo nti government yandibadde erowooza ku nsonga eno, okuyamba abaana abawala abayisibwa obubi nga batuuse mu nnaku ezo abamu nebatuuka n’okwekyawa.
Abakazi bamala wakati w’ennaku 3 – 7 ez’ensonga.
Mirembe Birungi Jovia, akulira eby’emirimu mu kitongole Kya CEHURD abatakabanira eddembe ly’abakyala naabali mu byobulamu, nga bano bakolagana ne Uganet ku nsonga y’okusaba oluwummula lwabakyala abali mu nsonga, agamba nti embeera gyebayitamu eba yeralikiriza nga kikulu oluwummulamu wakiri ennaku 2 ezisooka.
Mirembe ng’ali wamu ne Laura Angel Kyakunzire, bagamba nti wadde embeera eno eyinza okuteekawo okweyongera kw’okusosolebwa naabamu okumanya nti munnabwe ayita mu kiseera kino, naye ate kiyambako omuntu okufuna emirembe n’okuwummulamu olw’obulumi.
Wabula avunanyizibwa ku byobujjanjabi ebisookerwako mu ministry yeebyobulamu, Dr Charles Olaro, bino abiwakanyizza naagamba nti ekiseera ekyo abawala kyebayitamu n’abakyala kyabutonde nga tebayinza kuwagira mirimu kuyimirira nga bakyesigamako.
Dr Olaro agamba nti government erina kwongera kulowooza ku ngeri yakukwasizaako bantu Bali mu mbeera eno, nokubafunira ebyetaago.
Okunoonyereza kwalaga nti abaana abawala wakati w’akakadde kamu n’emitwalo 20 mu Uganda bataataganyizibwa ekiseera ky’ennaku zabwe ez’ensonga, ne government yali yasuubiza okubafunira ebikozesebwa wabula n’okutuusa kati tekiteekebwanga mu nkola.
Bisakiddwa: Kato Denis