Ebifo 1907 okwetoloola eggwanga byebiweereddwa olukusa okukuba ebiriroliro mu kumalako omwaka nga 31.12.2023, n’Okuyingira omwaaka omujja 2024.
Kampuni mukaaga zeezikakasiddwa okutunda fire works mu ggwanga lyonna, era waliwo ebiragiro ebiyisiddwa police ebirina okugobererwa.
Okusinziira ku mwogezi wa police Fred Enanga, okwokera emipiira mu nguudo ng’okwekulisa okumalako omwaka tekikkirizibwa.
Ategezezza nti police n’abakuumaddembe abalala bakulawuna emisana nekiro ebitundu byonna, okulondoola abamenyi b’amateeka.#