Enkuuka Tobongoota ey’omwaka guno 2023 , abategesi balangiridde olukalala lw’abayimbi 100 abagenda okuyimba mu nkuuka eno.
Babalangiridde ku Climax e Makindye mwebategeerezza nti abayimbi bano bonna bakutandika okuyimba okuva ku saawa 12 ezokumakya.
Abayimbi abanokoddwayo mwemuli Jose Chameleon,Misearch Ssemakula,Juliana Kanyomozi,Lord Fred Ssebatta,Harunah Mubiru,Sheebah Karungi n’abalala.
Balangiridde nti waliwo n’omuyimbi owenjawulo gwebagenda okulaga eggwanga kwolwo nga 31 December,2023, mu lubiri lwa Kabaka e Mengo.
Avunaanyizibwa ku bya stage y’enkuuka Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo agambye nti bannauganda bagenda kufuna ekivvulu kyebatalabangako.
Abagoba ba bodaboda abenjawulo bewangulidde amafuta, era nga bebamu abasuubirwa okutambuza abantu okutuuka mu Nkuuka.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge