Enkuuka masavu nga 31 December,2024 mu Lubiri e Mengo, enteekateeka zonna ziwedde, abantu bokka bebalindiriddwa olunaku olwenkya okukeera mu Lubiri e Mengo, gyebanaamalirako omwaka 2024 n’okuyingira omuggya 2025 nga bali omwo.
Ng’oggyeko okusanyusibwa abayimbi ne bannakatemba abenjawulo, saako okufuna Omuzira mubazira w’omwaka,2024, mulimu n’okuwangula ebirabo bingi ddala eri abaneetaba mu Nkuuka.
Abby Musinguzi omu ku bali mu nteekateeka, asabye abantu ba Kabaka okukeera okwewangulira ku birabo ebitegekeddwa omuli ne pikipiki kapyata n’ebirabo ebirala bingi.