Enkuuka Masavu 2024 yeemu ku bivvulu n’ebifo ebirala ebiwera 2900 ebiweereddwa olukusa okukuba ebiriroriro ebiyingiza abantu omwaka okwetoloola eggwanga lyonna.
Amyuka omwoogezi wa poliisi mu Kampala n’Emiriraano Luke Oweyisigire agambye nti ebifo ebyo ebiweereddwa olukusa burina okugoberera amateeka agaabiweereddwa, era naasaba abakozi b’Effujjo okusigala awaka okwewala okukwatibwa.
Oweyesigire era awadde amagezi eri abayimbi okugoberera amateeka n’endagaano zebaakoze n’Abategesi , okusanyusa Obulungi abantu b’Omutanda.
Minister wa Buganda owa government ez’ebitundu Owek Joseph Kawuki ategeezezza nti abantu b’Omutanda bakuweebwa Obukuumi Obumala mu Nkuuka emisana n’ekiro, nga kino kyakukolebwa eggye ly’Eggwanga UPDF ne Police, egenda okukozesa abaserikale abali mu byambalo ne mu ngoye eza buligyo.
Ssentebe w’akakiiko akateesiteesi k’Enkuuka Masavu Chris Bajjabayira, agambye nti emiryango gyonna gitandise okuyingiza abantu ab’Ebiti ebyenjawulo mu lubiri lw’Emengo.
Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abitex Kikofiira ku lw’Abatesiteesi asabye buli alina obuvunaanyizibwa obwamuweereddwa akole ekisoboka , okulaba nga abantu ba Beene basanyusibwa bulungi ddala.#