Obuwumbi bwa shs 263 zezaakasaasanyizibwa mu nteekateeka ya Parish Development model mu mwaka gwebyensimbi guno 2021/2022.
Enteekateeka eno government gyetaddeko amaanyi nti yegenda okuggya bannansi mu bwavu.
Ensimbi ezisinga obungi zisaasaanyiziddwa ku bakozi abagenda okutambuza enteekateeka eno.
Okusinziira ku biwandiiko ebiva mu ministry yebyensimbi nookutekeratekera eggwanga, ensimbi obuwumbi 200 zezaayisibwa mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka guno ogugenda mu maaso 2021/2022.
Ensimbi ezo zaayongerwako oluvanyuma lwa parliament okuyisa embalirira eyenyongereza ya buwumbi 63, omugatte bwe buwumbi 263.
Obuwumbi 147 zezaakagenda mu sacco abantu okwewola, songa obuwumbi 49 zezaakasaasaanyizibwa ku byokuddukanya nookutambuza emirimu gy’enteekateeka eno.
Obuwumbi 39 zisasuddwa ku misaala gya bakozi abakola mu nteekateeka eno eya Parish development model, songa obuwumbi 26 zezaakasasanyizibwa ku kugula ebyuma okuli computers nebirala.
Okutwaliza awamu, ku buwumbi 263 ezakateekebwa mu nteekateeka eno eya Parish development model mu mwaka gwebyensimbi guno ogugenda okugwako, obuwumbi 116 zigenze ku bakozi nebirala, songa obuwumbi 147 zezigenze mu sacco zabantu eziri ku miruka.
Government egamba nti mu mwaka gw’ebyensimbi 2021/2022, buli sacco yomuluka yafunye obukadde bwa shs 17 songa mu mwaka ogujja 2022/2023 buli muluka gugenda kufuna obukadde 100.