Enguumi enyoose mu parliament ya Uganda,ababaka babiri okuli owa Kilak North mu district ye Amuru Anthony Akol bwakubaganye nomubaka wa Mityana municipality Francis Zaake Butebi ng’entabwe evudde ku babaka bombiriri okukaayanira akatebe.
Bino bibadde mu lutuula lwa parliament enkya yaleero olwebbugumu nga 06 November,2024, parliament mwesuubirwa okusalawo ebiseera ebyomumaaso eby’ekitongole ky’emwaanyi ki Uganda Coffee Development Authority (UCDA) nekitongole ky’enguudo ki Uganda National Roads Authority (UNRA).
Omubaka Zaake asoose kwemulugunya eri sipiika nti atebereza mu parliament mulimu abakwaata mmundu abayinza okutuusa ku babaka obulabe.
Wabula bwazeeyo olutuula asanze akatebe mwabadde atudde ate omubaka Anthony Akol akatutte nga mwatudde.
Francis Zaake kyakoze kwekusindiika omubaka Anthony Akol, naagwe eri.
Akol Olusituse, akubye Omubaka Zaake agakonde agokumukumu agamulese ng’ataawa
Ababaka bombiriri okuwanyisiganya ebikonde, kireseewo akakyankalano mu parliament, era sipiika alabiddwako ng’adduka mu Ntebbe ye okutaasa obulamu.
Nomumyuuka owokubiri owa ssabaminisita weggwanga Gen Mosees Ali naye abebyokwerinda bamudduusiza okumufulumya parliament nga talaba mabega namaaso okutaasa obulamu.
Francis Zaake owa NUP olwagakonde agamukubiddwa mubaka munne Anthony Akol owa FDC bwebava ku ludda oluvuganya government, addusiddwa mu ddwaliro.
Bisakiddwa: Nabagereka Edith