Abakulembeze ba district ye Kyotera abatuula ku kakiiko akavunanyizibwa ku nguudo n’entambula bawuniikiridde bwebasanze ng’amagombolola agamu gamaze ebbanga nga tegaddaabiriza nguudo songa gawebwa ensimbi ezo buli mwaka.
Akakiiko Kano katuulako ababaka bonna abe Kyotera, Rdc, akulira abakozi ne sentebe wa district, bamaze ennaku satu nga betoolola amagombolola.
Egombolola ye Nabigasa basanze emaze emyaka 3 nga teddaabiriza nguudo zaayo.
Gombolola chief we Nabigasa abuuziddwa ekibagaana okuddaabiriza enguudo okumala ebbanga eryo, agambye kimu nti ye akyali mupya mu gombolola eyo.
Egombolola ye Lwankoni yesinze okukola obulungi mu mwaka gw’ebyensimbi guno, ng’enguudo zonna ziddaabiriziddwa bulungi okuggyako okutinda emigga kukyabulam
Wabula basuubizza nti baafuna ebigoma ebyabaweebwa omubaka w’e ssaza lye Kyotera John Paul Mpalanyi Lukwago, byebasuubira okukozesa okwongera okutindira emigga.
Mu birara ebituukiddwako mwemuli aba UNRA okutandika okuddaabiriza oluguudo olunene oluva ku Buyambi mu Kyotera town council okuyita e Kifuuta Kabira, okutuuka e Mitondo mu gombolola ye Lwankoni nerugatta ku Kaliisizo town council.
Omubaka Mpalanyi Lukwago John Paul agambye nti buno buwanguzi bw’amaanyi obutuukiddwako, era n’asaba aba UNRA okwanguyaako ne ku nteekateeka y’okukola oluguudo oluva e Masaka okutuuka e Kyotera.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi