Bazukulu ba Kisolo abeddira Engoonge besozze oluzannya olwakamalirizo olw’empaka z’ebika by’Abaganda ez’omupiira ogw’ebigere, bawanduddemu bazukulu ba Kalibbala abe Nsenene ku goolo 9-8 ezibadde ez’okusimulagana peneti.
Mu kusooka ttiimu zonna zisoose kulemagana goolo 1-1 mu dakiika 90, ate nga n’oluzannya olwasooka ttiimu zonna zalemagana goolo 1-1.

Kitandwe Ediriisa Katikkiro w’ekika kye Ngoonge yebaziza abazukulu bonna abalina kyebakozi okusobozesa ttiimu eno okutuuka ku final z’omwaka guno era n’abasaba okujja mu bungi ku luzannya olwakamalirizo okuwagira ttiimu yabwe okuwangula engabo ey’omwaka guno.
Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi ll okuggalawo empaka z’ebika nga 26 August,2023.
Mupiira ogw’ebigere Embogo egenda kuttunka ne Ngoonge ate mu kubaka Engeye yakuttunka ne Nnyonyi Ennyange.

Omumyuka wa ssentebe w’olukiiko oluteekateeka empaka zino, Hajji Jamil Ssewanyana, akunze ebika byonna ewatali kwetemamu okujja mu bungi okubugiriza Omuteregga, era yebazizza olw’omutindo ogwoleseddwa ebika byonna ebyetabye mu mpaka z’omwaka guno.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe