Empaka z’ebika bya Baganda ez’omupiira ogw’ebigere zigenda kuddamu okuzannyibwa olwaleero nga 28 May,2025 n’emipiira 4 ku bisaawe ebyenjawulo, nga emipiira gino gye gigenda okuggulawo omutendera gwa quarterfinal.
Emipiira gino gigenda kuzanyibwa mu kisaawe e Wankulukuku ne kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso, wabula nga ku mutendera guno ogwa quaterfinal tewali kuddingana.
Kusaawa 8 ez’emisana, Engabi Ensamba egenda kwambalagana ne Ngabi Enyunga mu kisaawe e Wankulukuku, ate nga e Mamba Kakoboza egenda kuzannya ne Nsenene kusaawa 10 ez’olweggulo era mu kisaawe e Wankulukuku.
Mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso, kusaawa 8 ez’emisana, e Kkobe ligenda kuzuzumba ne Ngo, olwo kusaawa 10 ez’olweggulo Omutima Omusagi gugenda kwambalagana ne Ndiga.
Ebika 4 ebiyitawo bijja kwesogga butereevu omutendera gwa semifinal ogugenda okuzannyibwa nga 31 May, ate final ebeerewo nga 07 June, mu kisaawe e Wankulukuku.
Engabi Ensamba be bannantamegwa b’empaka ezasembayo eza 2024, era ku final baakuba e Mpindi goolo 1-0 mu kisaawe e Wankulukuku.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe











