Olwaleero ziri ennaku z’omwezi 6 February,2023 eggye ly’eggwanga erya UPDF lijaguza bwegiweze emyaka 42 bukyanga bayeekera ba NRA balumba enkambi ye Kabamba mu District ye Mubende, mu lutalo olwaleeta government ya NRM mu buyinza, era olwazaala eggye lya UPDF.
Ku lunaku luno olwa Tarehe sita, amagye gategeezeza nti waliwo ebitukiddwako bingi ddala omuli okunyweeza eby’okwerinda mu ggwanga ,okukuuma emirembe n’okusomesa abaserikale.
Omwogezi wa UPDF Brig Gen felix Kulaigye amnyonyodde nti amagye gabangudde abaserikale nebaweebwa obukugu obw’enjawulo mu kuzimba, nga bayita mu kitongole ekizimbi ekya UPDF Engineering Brigade ,okuzimba amalwaliro, okuwa abantu obujajabi , n’okuyambako okukuuma emirembe mu mawanga omuli Democratic Republic of Congo , Somalia ne South Sudan.
Felix Kulaigye agambye nti egye lya UPDF lyakwongera okusaawo emirimu gy’enkulakulana egiyingiza ensimbi okukwasizaako government.
Mungeri yemu agambye nti wadde amagye galina ebituukiddwako bingi, nti naye bakyalina okusoomozebwa okuva ku nsimbi entono ezibaweebwa.
Wakyaliwo obwetaavu bw’okumaliriza eddwaliro ly’amagye e Mbuya ,okuzimba ennyumba z’abaserikale n’okwongeza ensako zabwe.
Olunaku lwa Tarehe Sita lukuzibwa nga 6 February buli mwaka, okujjukira olunaku abayeekera ba National Resistance Army- NRA abaaduumirwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni lwe gaalumba enkambi y’amagye ku mulembe gwa Milton Obote e Kabamba nga 6 february 1981.
Abalwanyi baali 41 n’emmundu zabwe 27 bebaatandika olutalo lwekiyeekera luno olwamala emyaka etaano, baawamba 26 January,1986.
Kwaliko Gen Yoweri Kaguta Museveni kati president wa Uganda , Paul Kagame kati President wa Rwanda, omugenzi Gen Elly Tuhirirwe Tumwiine , Col fred Mwesigye , Brig Andrew Lutaaya , Jack Muchunguzi , Julius Chihande ,George Mwesigwa ,Charles Tusiime Rutarago n’abalala.
Ebikujjuko by’omwaka guno eby’emyaka 42 egya UPDF bitandise okubumbujja mu kisaawe e Kakyeeka mu kibuga Mbarara.
Bitambulira ku mulamwa gwokujjukira abaatandiika olutalo olwaleeta enkyukakyuka mu ggwanga, ng’abajaasi bakoze bulungi bwansi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okumala wiiki namba.
Mubaddemu okujanjaba abantu, okulongoosa ebitundu okuli Ibanda, Kazo, Isingiro , Kiruhura Mbarara n’ebirala, okulongoosaa amayumba g’abantu abatalina mwasirizi, okufuuyira ebiwuka , okudaabiriza amasomero agali mu mbeera embi n’ebirala.#