Bannantameggwa ab’empaka z’ebika by’Abaganda ez’okubaka omwaka oguwedde 2024 abe Nnyonyi Nnyange, bakiguddeko Embwa bwe bawandudde mu mpaka z’ebika ez’omwaka guno 2025.
Empaka z’ebika bya Baganda zimaze ennaku 2 nga ziyindira mu kisaawe e Namboole, era Nnyonyi Nnyange okuwanduka ekubiddwa Embwa obugoba 26-21 ku mutendera gwa quarterfinal.
Ebika 4 byesozze omutendera gwa semifinal okuli Embwa, Engeye, Mamba Namakaka ne Ngoonge.
Ku mutendera gwa quarterfinal Engeye ekubye Omutima Omusagi obugoba 26-19, Ngoonge ekubye Kkobe obugoba 37-27 ate nga Mamba Namakaka ekubye obugoba 29-28.
Kakaano omutendera gwa semifinal ne final bigenda kuzannyibwa nga 03 omwezi May,2025 mu kisaawe e Wankulukuku, ku lunaku emipiira gya basajja lwe gigenda okutandika wakati we Ngabi Ennyunga nga ettunka ne Akasimba.#
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe