Obululu bw’ebibinja obwa ttiimu ezigenda okuvuganya mu mpaka ez’okubaka mu mpaka z’ebika bya Baganda ez’omwaka guno 2025 bukwatiddwa, ebika 18 bye bikakasiddwa okuvuganya.
Ebika bino bisengekeddwa mu bibinja 3, nga buli kibinja kirimu ttiimu 6, era ekibinja A mulimu bannantameggwa b’empaka ezasembayo abe Nnyonyi Nyange, Ensenene, Nte, Ngo, Mamba Kakoboza ne Olulyo Olulangira.
Ekibinja B mulimu Engeye, Enkima, Mbogo, Kkobe, Omusu ne ttiimu endala emu enatukiriza emisoso mu bwangu nga emizannyo teginatandika.
Ekibinja C mulimu Mamba Namakaka, Njovu, Mbwa, Ngabi Nsamba, Ffumbe ne Ndiga.
Empaka zino zigenda kuzannyibwa ku Saturday nga 26 ne Sunday nga 27 mu kisaawe e Namboole.
Obwakabaka buwadde ebika byonna ebigenda okuvuganya mu kubaka emipiira 2 buli kika, era gibakwasiddwa omumyuka wa ssentebe w’empaka z’ebika, Dr Sarah Nkonge Muwonge.
Fayinolo y’empaka zino ejja kuzannyibwa ku lunaku emipiira gyabasajja egy’ebigere lwe gijja okutandika nga 03 May, mu kisaawe e Wankulukuku.
Omuwanguzi w’empaka ez’okubaka afuna engabo, emidaali, ensimbi enkalu obukadde 7, ow’okubiri obukadde 5 ate ow’okusatu obukadde 3.
Mu ngeri yeemu ebika 36 bye byakewandiisa okuvuganya mu mpaka z’omupiira ogw’ebigere, nga ebika ebikyasembyeyo ye Nvumba ne Ffumbe.
Bazukulu ba Kanyana abe Ngabi Ennyunga be bagenda okuggulawo empaka z’omupiira ogw’ebigere nga battunka ne bazukulu Kabazzi aba Kasimba mu kisaawe e Wankulukuku.
Bino bye Bika ebimaririzza okwewandiisa okuvuganya 2025
1. Ndiga
2. Nkerebwe
3. Mutiima Musaggi
4. Mbwa
5. Njaza
6. Mpindi
7. Kasimba
8. Ngabi Nsamba
9. Butiko
10. Ngabi Nnyunga
11. Nakinsige
12. Nkusu
13. Njovu
14. Musu
15. Nvubu
16. Ngaali
17. Nte
18. Mmamba Kakoboza
19. Kkobe
20. Nkima
21. Nsuma
22. Ngonge
23. Ngo
24. Olulyo Olulangira
25. Mmamba
26. Kinyomo
27. Nnyonyi Nnyange
28. Ndiisa
29. Njobe
30. Nsenene
31. Ngeye
32. Lugave
33. Kayozi
34. Mbogo
35. Ffumbe
36. Nvuma
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe