Omwami wa Kabaka atwala essaza Buddu, Ppookino Jude Muleke, atongozza olukiiko olugenda okuddukanya ttiimu y’essaza Buddu mu mpaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2025.
Pokino olukiiko alutongoleza ku mbuga y’essaza Buddu e Masaka, n’omulanga eri abalondedwa okuddamu okukola obutaweera okweddiza ekikopo kya masaza kye baawangula omwaka oguwedde 2024.
Omuyima wa ttiimu eno ye minister wa Micro Finance, Kyeyune Haruna Kasolo, ate ng’abawi bamagezi ye Mukwenda eyawumula Ssalongo Godfrey Mbalire ne Mulangira Edward Nakibinge.
Ssentebe wa ttiimu asigadde ye Lutaaya Joseph n’omumyukawe Kagolo Sarah omukulu w’essomero lya Kimaanya Primary School.
Buddu okuwangula ekikopo kya season ewedde 2024 yakuba Kyaggwe ku final mu kisaawe e Namboole goolo 1-0, era ekikopo kino yakiwangula omulundi ogw’okusatu nga yasooka mu 2016, 2021 ne 2024.
Empaka z’amasaza ez’omwaka guno 2025 okusinzira ku calendar y’Obwakabaka zijja kutandika nga 05 omwezi ogw’omusanvu.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe