Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ekya CAF kikakasizza ttiimu ya Uganda Cranes nti yakuzannya n’omuwanguzi wakati Somali ne Tanzania mu mpaka z’okusunsulamu ensi ezinakiika mu mpaka za CHAN ez’omwaka ogujja 2023.
Obululu bw’empaka zino bukwatiddwa olwaleero mu kibuga Cairo ekya Egypt era Uganda mu mpaka zino egenda kutandikira ku mutendera gw’oluzannya olwokubiri.
Somali ne Tanzania bagenda kutandikira ku mutendera gwa luzannya lusooka, era omupiira guno gwakuberawo mu July 2023.
Uganda n’omuwanguzi anayita wano bakuzannya mu August 2023, era omuwanguzi awo wakwesogga butereevu empaka ezakamalirizo ezigenda okubeera mu Algeria mu 2023.
Empaka za CHAN CAF zitegeka buli luvannyuma lwa myaka 2, zetabwamu abazannyi bokka abazannyira mu liigi z’ewaka.
Empaka zino zigenda kubeera za mulundi gwa 7 zaatandika mu 2009.
Zigenda kwetabwamu amawanga 18 okuva nga 8 okutuuka nga 31 January 2023.
Empaka ezasembayo mu 2020 zaali Cameroon zaawangulwa Morocco, nga Uganda mu mpaka ezo teyasomoka mutendera gwa kibinja.
Uganda yeyasemba mu kibinja C omwali Morocco, Rwanda ne Togo
Uganda empaka zino yakazetabamu emirundi 5 mu 2011, 2014, 2016, 2018 ne 2020.
Morocco ne DR Congo be bakyasinze okuwangula empaka zino, emirundi 2 buli omu.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe