Waliwo emmundu egambibwa okuba nti yeemu ku zibadde zikozesebwa okutigomya abantu mu district ye Kyotera, esangiddwa ng’ezingiddwa mu bigoye ebimyufu, ng’ekukuliddwa wansi w’emirandira gya Kalittunsi.
Emmundu kika kya AK47 tesangiddwamu ssasi lyonna.
Abavubuka ababadde batema ekibira kya Kalittunsi ku kyalo Kibutamu mu gombolola ye Lwankoni bebajirabye nebatemya ku ssentebe wa LC akubidde police ye Lusaka eyise ginaayo eye Kyotera, nebaggyayo emmundu eno.
Omwogezi wa police mu bitundu ebyoTwaha Kasirye agambye nti emmundu eno yali yabbibwa ku musirikale afande Apangu Luke eyali agenze okukuuma ebigezo mu kitundu ekyo mu mwaka gwa 2022.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi