Kyadaaki police mu Kampala némiriraano emmundu eyali yabbibwa ku musirikale mu bitundu bya Kafumbe Mukasa road mu Kisenyi.
Police ekoze omuyiggo nebasanga nga yasuuliddwa ku kasasiro, oluvanyuma lwábantu abakolera ku luguudo Kafumbe Mukasa okugitegeeza nga bwewaliwo ababbi ababbisa emmundu bwebabatigomya akawungeezi, nga babateeka ku mudumu gw’emmundu nebabanyagulula.
Omuduumizi wa Police mu Kampala North Gerald Twishime ng’ali wamu nabebyokwerinda abalala bakubye olukiiko mu Kisenyi nebasaba abantu okulonkoma abavubuka bonna ababbi bakwatibwe.
Abatuuze nábakolera mu Kisenyi bawanjagidde police mu Kampala némiriraano ebayambe ezeewo police ya Kafumbe Mukasa Road#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif