Nnabbambula w’omuliro akutte emmaali y’abasuubuzi mu kitundu ekimannyiddwa nga ku Bbiri e Wandegeya mu muluka gwa Makerere I mu division ye Kawempe.
Emmotoka ezisoba mu 10 ziyidde saako ne business nnyinigi naddala ezibadde zitunda ebibajje, n’ebirala zonna zisaanyeewo.
Ekivuddeko omuliro tekinategeerekeka.
Mu kitundu kye kimu ekikutte omuliro, waliwo abasuubuzi olunaku lwajjo nga 18 December,2024 , abaavudde mu mbeera nebekalakaasa, oluvannyuma lw’omu ku bakulembeze babwe abadde abaterekera ensimbi ez’okugabana nga Chrismas etuuse, bwebatuuse okuzimusaba nga tazirina.
Ate obudde bubadde bukya mu kiro ekikeesezza nga 19 December, 20204 ku ssaawa nga 11 omuliro negukwata emmaali y’abasuubuzi, basigadde mu miranga.