Wabaddewo akasattiro ku kyalo Kisala mu gombololola ye Bigasa mu district ye Bukomansimbi, emmotoka ebadde esomba n’okutambuza abaana b’esomero bwetegulukuse neeyingirira amaka ga sentebe w’ekyalo ekyo abayizi nebakosebwa.
Emmotoka No. UAV 687A kika kya TownAce kigambibwa nti yasssomero lya Bright Angles primary school Mbaale Kinoni mu town Council ye Butenga.
Ddereeva abadde ajivuddemu abeereko omwana gwanonona mu maka agamu,kyoka mmotoka netegulukuka.
Abatuuze nga bakulembedwamu ayogerera NRM e Bukomansimbi Kizito Ssemukuutu Kimuli, batubulide nti abayizi nga 8 bebafunye ebisago.
Bagamba nti emmotoka eyo eyingiride ekiyumba ky’enkoko era zonna ezisse n’okwonoona ekitundu ky’enyumba ya sentebe.
Ssegawa Joseph ssentebe wekyalo Kisala, alunyumya nga lutabaalo, agamba nti omugoba wa mmotoka eyo ayanzeyaanze najibukira okujiwugula obutayingirira nnyumba mwebasula, kwekugiwugula neyingirira ekiyumba ky’enkoko, era okusibye naajibukamu nadduka.
Ssemukuutu Kimuli Kizito, agambye nti abayizi abakisedwa baddusidwa mu malwaliro okufuna obujanjabi.
Bisakiddwa: Ssebuufu Mubarak Junior










