Emmotoka Fuso eremeredde omugoba waayo mu bitundu bye Nateete mu gombolola ye Lubaga mu Kampala, esse omuntu n’okwonoona mmotoka ne bodaboda eziwerako.
Afudde abadde mugoba wa bodaboda era ng’abadde aweese abantu 2 kubaddeko omukyala n’omwanawe.bano baddusiddwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Fuso No.UAT 348M ebadde eva ludda lwe Busega ng’eyingira Nateete ,bwekituusa ku matufa ga Total okumpi ne paaka ye Nateete nekitabuka nekitaandika okutomera emmotoka endala.
Aba bodaboda abamu kibawaluliridde wansi waayo, ate abalala abasimattuse baddusiddwa mu malwaliro nga bataawa.
Ababaddewo ng’akabenje kagwa bagambye nti ddereeva wa FUSO alabye emmotoka emutabuseeko n’atandika okukuba enduulu,ababadde basobola nebesega,oluvannyuma naye agibuuseemu.
Police ye Nateete ekimotoka ekikoze akabenje ekijgyewo, wamu n’emmotoka endala ezitomeddwa kwosa Bodaboda zonna bazitadde ku police ye Nateete.#