Enkumi n’enkumi z’abasaabaze zikonkomalidde ku bisaawe by’ennyonyi mu mawanga ga Buwalabu, oluvannyuma lw’obulumbaganyi obukoleddwa United States of America ne Israel ku ggwanga lya America.
USA ng’ekolera wamu ne Israel gawandagazza ebikompola mu Iran, n’ekigendererwa eky’okusaanyaawo omukulembeze wa Iran owokuntikko Ayatollah Ali Khamenei.
Amaka ga president wa USA, gategeezezza nti ennumba zini zigenze okukolebwa nga president Donald Trump agoberera butereevu buli ekibadde kigenda mu maaso mu kikwekweto kyebatuumye Operation Epic Fury 2026.
Kampuni z’ennyonyi ezisoba mu 280 zirangiridde nga bweziyimirizza eηηendo zaazo, okuva n’okugenda e Dubai n’amawanga ga Buwalabu amalala.
Kampuni ya Uganda Airlines yeemu ku kampuni ezirangiridde nga bweziyimirizza eηηeendo zaazo mu mawanga ago nga bwebeyongera okwetegereza embeera.#












