Akakiiko k’ebyokulonda aka Uganda Electoral Commission katandise okutimba enkalala z’abalonzi okwetoloola emiruka gyonna mu ggwanga, eri abanaalonda abakulembeze mu kaluku ka 2026.
Enteekateeka eno erimu okuwandiisa abalonzi abapya naddala abaakaweza emyaka 18, n’abatewandiisangako,, okuggyamu abaafa nokuwa omwagaanya eri abo abagala okukyuusa ebifo gyebalondera, okukikola.
Enteekateeka eno etandise leero nga 20 January,2025 ekkomekereza nga 10 February,2025.
Ssentebe w’akakiiko k’okulonda aka Uganda Electoral Commission Simon Byamukama enteekateeka eno agitoongolezza mu kitundu kye Kamwokya mu Kampala.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Julius Mucunguzi agambye nti enteekateeka yakutandiikanga ku saawa bbiri ezokumakya olwo ekkomekerezebwenga ku saawa 12 ezakawungeezi.
Muchunguzi agambye nti ebyetaagisa byonna okukola omulimu guno, n’abakozi babanguddwa ekimala.
Okusinziira ku mateeka agafuga ebyokulonda mu ggwanga, omuntu atali mu lukalala lw’abalonzi, tasobola kwesimbawo,tasobola kubeera agent wooyo eyesimbyewo, era tasobola kutwala kwemulugunya kwonna eri akakiiko k’ebyokulonda yadde omusango mu kkooti ogukwaata ku bivudde mu kulonda.#