Ekkanisa ya Uganda etongozza olukiiko olugenda okuteekateeka okulamaga ku kijjukizo ky’abajulizi e Namugongo omwaka guno 2025, nga 03 June.
Olukiiko lw’abalabirizi mu kkanisa ya Uganda lwalonda ebendobendo ly’obukiika kkono bwa Uganda, okuteekateeka ebikujjuko byomwaka guno 2025, era neeituumibwa Northern Uganda Cluster.
Obulabirizi 6 bwebuli mu nteekateeka eno okuli obwa Kitgum, West Lango, Madi, West Nile, Lango Diocese, ne Nebbi nga olukiiko olulondeddwa luliko buli mulabirizi ava mu bulabirizi obwo.
Ssabalabirizi wekkanisa ya Uganda, kitaffe mu Katonda, Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, yalangiridde olukiiko luno era naakakasa nti lwakukulirwa omulabirizi wa Northen Uganda owoomunaana, Rt Rev Godfrey Loum nga ssentebe amyukibwe abalala.
Ssabalabirizi Kazimba agambye nti Ssabalabirizi owoomusanvu mu kkanisa ya Uganda, The most Rev Emeritus Luke Olombi, yegenda okukulemberamu okubuulira ku lunaku luno.
Mungeri yeemu Ssabalabirizi Kazimba era akakasizza nti choir y’omwaka guno yakubaamu abantu 400, neebivuga ebyenjawulo era naasaba abantu okukwasizaako olukiiko mu kunonya ensimbi ezookuteekateeka ebikujjuko.#
Bisakiddwa: Ddungu Davis