Omukulembeze wa Uganda Gen.Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa mu butongole agguddewo ekisaawe kya Hoima City Stadium okutandika okuwereza bannayuganda, nawera nti kino kikyali kituuza mu kwongera okusitula ebyemizannyo mu Uganda.
Ekisaawe kino kizimbiddwa mu bbanga lya myezi 12 gyokka.
Ku mukolo gw’okukiggulawo president Museveni awerekedwako mukyalawe era nga ye minister w’ebyemizannyo n’ebyenjigiriza Janat Kataha Museveni, Ssabaminisita Robinah Nabbanja, aba kumpuni ya SUMMA eya Turkey abazimbye ekisaawe kino nabakungu abalala.
President Museveni atenderezza omutindo gw’ekisaawe kino nagamba nti kigenda kwongera okusitula enkulakulana yabavubuka, eby’obulambuzi ku ludda olw’ebyemizannyo, okusitula ekitiibwa kye ggwanga n’ebirala.
Ekisaawe kino kyatandika okuzimbibwa mu mwezi ogw’omunaana 2024, era kimazeewo ensimbi za Uganda obuwumbi 484, nga ensimbi zonna zivudde mu government ya Uganda.
Ekisaawe kino era kiriko ekisaawe ekirala ekya Indoor stadium ekituuza abantu 2,000, nga kya kuzanyibwamu emizannyo emirala okuli ensero, ebikonde, Volleyball, okubaka, ate nga waliwo n’ebifo ebigenda okuberamu okuwuga, emisinde ne Tennis.
Ekisaawe kino kye kimu ku bisaawe 3 ebigenda okukozesebwa Uganda okutegeka empaka za AFCON 2027, okuli ne Namboole ewamu ne Aki Bua Stadium e Lira.
Mu kuggulawo ekisaawe kye Hoima wabaddewo omupiira ogw’omukwano nga club ya Kitara ekubye KCCA goolo 1-0 eteebeddwa Isaac Amutuhaire.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












