Wabaluseewo ekirwadde kya Anthrax ekimanyiddwa nga KOOTO mu District ye Ssembabule, abantu 2 bakakasiddwa nti kibasse wamu n’ente eziwerako zifudde.
Ekirwadde kino kizuuliddwa mu Ssaza lye Lwemiyaga era kirowoozebwa nga Ente ezaabuleeta zava mu bitundu bya district ye Kazo ewakakasiddwa nti nayo waliyo abantu 2 abaafudde ekirwadde.
Dr. Ismail Asiimwe amyuka akulira ekitongole eky’abakugu abakolera awamu okutaasa abantu n’ebisolo ekya One Health Technical Lead mu bendobendo lye Masaka, alabudde abantu okwewala ennyama y’Ente ezifudde oba ezisaliddwa mu makuubo agatali matuufu.
Dr Asiimwe agambye nti abantu 2 abafudde baabadde baalidde ennyama y’ente eyafudde, so nga n’ente zebaazudde nga zifudde obubonero bwonna bwa Anthrax, wabula n’ategeeza nti balina sampo ezatwaliddwa mu byuma okwongera okwekebejjebwa bongere okukakasa ekirwadde.
Akulira ekitongole eky’ebisolo e Sembabule, Dr Angello Ssali agambye nti obulwadde buno businga kutambuzibwa nga buva ku kisolo okudda kubantu naddala ng’omuntu alidde ennyama y’ente efudde yokka.
District ye Sembabule ya bulunzi era etawanyizibwa nnyo ebirwadde, nga babadde bakava mu kalantini akulungudde emyaka nga 3 olw’obulwadde bwa Kalusu ate kaati Anthrax abaziinzeeko.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito