Abalunzi mu ggombolola ye Ngogwe ne Ssi Bukunja mu district ye Buikwe beraliikirivu,olw ‘ekirwadde ekirumbye amagana gabwe ekiyitibwa Ekifuluuto (Lampy skin).
Ente 82 zezaakazuulibwa n’ekirwadde nga n’ezimu zitandise okufa.
Okusinzira Ku basawo ekirwadde kino kiviirako ente okubutuka , n’okukulukuta eminyira era ng’esobola okufa.
Abalunzi nga bakulembedwamu Ssekitooleko Henry okuva mu muluka gwe Lubongo, bawanjagide abakulu ku district okubasalira amagezi bataase amagana gabwe.
Dr.Mwanje Gerald akulira eby’ebisolo mu district ye Buikwe ategezezza nti mu kiseera kino district terina nsimbi zakugema magana gonna mu nkola ey’ekikungo.
Wabula abasawo b’ebisolo ku maggombolola balagiddwa okukwatagana n’abasawo abakola egyabwe, okuyambako abalunzi okugema n’okujanjaba ku nsimbi ez’ekigero.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher