Minister w’ebyemasanyalaze Dr Canon Ruth Nankabirwa agamba nti ekibululu ekisaanikidde ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo, kibudde ku babbi ba wire n’emiti gy’amasanyalaze.
Minister Ruth Nankabirwa alabudde nti eggwanga lyolekedde okuddayo mu kibululu ekitasalako, olwobubbi bw’ebintu byamasalaze obukudde ejjembe
Minister agambye nti emyaka egiyise ababbi baali basiinga kusala wire ezitambuza amasannyalaze ag’amaanyi, wabula mu kiseera kino kati n’emiti bagibba.
Amasannyalaze gaavaako mu nkuba eyatonnya ey’amaanyi ng’erimu omuyaga ogukunta, mu kiro kya Sunday nga 23 March,2025, eranga yasaasaanira ebitundu by’eggwanga bingi.
Ennaku ziweze bbiri ng’ekibululu kikutte, ebitundu ebimu bigafunako ssaawa busaawa negavaako, amalwaliro galaajanye, abalina business ezikolera ku masannyalaze n’abalala.
Mu mbeera eno, endagaano ya Kampuni ya UMEME ebadde eddukanya eby’amasannyalaze ey’emyaka 20 esigaddeko ennaku 6 zokka eggweko, nga 31 March,2025, olwo obuvunanyizibwa budde mu mikono gya government ya Uganda ng’eyita mu kitongole kyayo ki Uganda Electricity Distribution Company Limited UEDCL.
Minister w’ebyamasannyalaze Ruth Nankabirwa agambye nti UMEME erina okwetikka omusaasalaba gwaakyo ogw’okuoddaabiriza ebyoonoonese wadde egenda, ebbula ly’amasanyalaze baleke kuliteeka ku kitongole kya Government ki Uganda electricity Distribution Company limited ekigenda okweddiza obuvunaanyizibwa gwokuddukanya amasanyalaze
Embeera y’amasanyalaze okuvaavaako kikyali kizibu kinene mu Uganda, era nga tewanabaawo ssuubi ku kiseera lwekigenda kukoma.#