Ekibiina ky’amawanga amagatte n’ekitongole ky’eby’obulamu mu nsi yonna, birabudde government ya Uganda nti eyolekedde obulabe obw’amaanyi, ssinga Uganda teyongera ku buvujjirizi bwayo mu kutumbula eby’obulamu by’eggwanga.
Ebitongole binnamukago mu kuvujjirira eby’obulamu nebyobujjanjabi mu Uganda byongedde okusalika nga kyekiseera government okwekwatira mu kuvujjirira ensimbi ezimala mu byobulamu byayo.
Kino kijjidde mu kiseera nga ebitongole okuli USAID, nebirala byatandise okuggalawo obuweereza bwabyo mu Uganda, oluvanyuma lw’ekiragiro kya president wa America Donald Trump, okuyimiriza obuvujjirizi eri amawanga amankuseere omuli ne Uganda.
Bwebabadde mu lukuηaana lw’okukubaganya ebirowoozo ku buvujjirizi bw’ensimbi mu byobulamu oluyindidde ku Speke Resort Hotel e Munyonyo, Gift Malunga, ssenkulu w’ekitongole kya UNFPA ekivunanyizibwa ku muwendo gw’abantu mu nsi yonna, awanjagidde parliament ya Uganda okwongera obuvujjirizi mu byobulamu naddala mu kiseera kino nga bateekateeka embalirira y’omwaka gwebyensimbi 2025/2026.
Ssenkulu w’ekitongole ky’ebyobulamu ekyensi yonna mu Uganda, Dr Kasonde Mwinga, asinzidde wano naasaba government eyongeze emisolo ku by’amaguzi ebikosa obulamu bw’abantu nga taaba, omwenge, nebirala kijiyambeko okuvujjirira ebyobulamu byayo okutuuka ku bitundu 15% ebiragirwa mu ndagaano eyakolebwa mu kibuga Maputo ekya Mozambique eya Maputo declaration.
Akulira ekitongole kyensi yonna ekitakabanira eddembe ly’abaana ekya UNICEF mu Uganda, Dr. Robin Nandy, agambye nti government yaakuno erina okutandika okulowooza ku buvujjirizi bwayo nga tesuubiriza mu bitongole n’amawanga g’ebweru, obuyiiya n’okukwata obulungi ensimbi ezibaweebwa mu ggwanika.
Wabula ssentebe w’akakiiko k’ebyobulamu mu parliament era omubaka wa Hoima West, Dr Joseph Luyonga, aweze nti waakukulembeera babaka banne okuperereza government ya Uganda okwongera ensimbi mu by’obulamu.
Paul Patrick Mwanja, Commissioner mu ministry y’ebyensimbi, asinzidde wano naakakasa nti government buli mwaka ezze eyongeza ku nsimbi zeeteeka mu by’obulamu okuva ku trillion 2 n’obuwumbi 700 okutuuka ku trillion 3 n’obuwumbi 980 mu mbalirira y’omwaka guno ogugwako 2024/2025.
Bisakiddwa: Ddungu Davis