Ekibiina kya National Unity platform kimaliriza okukungaanya emikono egisemba omubaka wa Kyadondo East era omukulembeze wekibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu okweesimbawo ku bwa president mu kalulu akaggya akomwaka 2021.
Okusinziira ku tteeka erifuga okulondebwa kwomukulembeze weggwanga ,omuntu ayagala okweesimbawo ku ntebbe yomukulembeze weggwanga alina okukungaanya emikono 100 okuva mu buli districts ezikola ebitundu 2/3 ezomuwendo gwa districts zonna eziri mu ggwanga
Joel ssenyonyi omwogezi wekibiina kya NUP agambye nti ekibiina Kiri mu kusunsula emikono gino ,nokugattako emitonotono egiwerezebwa bannansi abalalala abaagala okusemba omuntu waabwe,naagamba nti sabiiti eno emikono gino bajja kuba bajitwaala mu kakiiko kebyokulonda