Bazzukulu ba Walusimbi abeddira e Ffumbe batandise bubi mu mpaka z’Ebika by’Abagandaez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2025, bakubiddwa bazzukulu ba Maweesano abeddira ηηaali ku ggoolo 2 – 0.
Omupiira guzannyiddwa ku kisaawe kya Lubiri SS.
Omupiira wakati we Mazzi Ge Kisasi ne Kinyomo teguzanyiDdwa olwa Mazzigekisasi obutewandiisa kufuna licence, ate nga n’omupiira wakati wa Kayozi ne Kkobe teguzanyidwa olwa ttiimu ya Kayozi obutabeera nabiwandiiko.
Omutaka Kasujja Kyesimba Kakande Sheba Kibirige owómunaana owe Ngeye, Omutaka Nakigoye Nabbimba Lukabya Samson owe Kinyomo, ssentebe w’emipiira gy’ebika bya Baganda Katambala Al Hajji Magala Sulaiman bonna betabye ku mipiira gy’ebika egigyazanidwa ku kisaawe kya Lubiri SS.
EBIKA EBIRALA EBIZANNYE
*Mpeewo 0-1 Nsuma*
Innocent Kanaabi
*Ngabi Nnyunga 1-2 Musu*
Henry Matovu for Ngabi Nnyunga
Derrick Jjagwe
Marvin Mulumba for Musu
*Njovu 3-2 Ntalaganya*
Patrick Ssekandi
Asafu Segujja for Njovu
Faizo Mugerwa
Kamuhabwa Perez for Ntalaganya
*Ngaali 2-0 Ffumbe*
Joseph Kyeyune
Salim Kazibwe
*Kayozi Vs Kkobe not played*
*Mazzi ga Kisasi Vs Kinyomo not played*
*Mutima Muyanja 3-0 Nkusu*
Ivan Mayanja
Abu Mayanja
Osman Mayanja
*Nakinsinge 0-3 Olulyo Olulangira*
Raymond Walugembe
Frank Kalanda
Ronald Kayondo
Emipiira gino gya mutendera gwa round of 64, era ttiimu zigenda kuddingana ku lw’okutaano nga 09/05/25 okufunako abagenda ku round of 32.