Omuzannyi w’omupiira munnauganda Edirisa Lubega mu butongole yegasse ku club ya Osterhofen egucangira mu liigi y’ekibinja eky’omusanvu mu Germany.
Edirisa Lubega abadde talina club emyezi 5 egiyise, oluvanyuma lw’okwabulira club ya Pribram B eya Czech Republic mu June 2024.
Mu club empya eya Osterhofen gy’agenzeemu eya Germany, atadde omukono ku ndagaano ya myaka 2 ng’abacangira endiba.
Edirisa Lubega yazannyirako ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes emirundi 10 era yali musaale ku ttiimu eyakiikirira Uganda Cranes mu mpaka za CHAN 2016.
Azannyiddeko mu Austria, Portugal ne Estonia, ate mu Uganda yazannyirako club ya Proline.
BIsakiddwa: Isah Kimbugwe