Amyuka omubaka wa government e Sembabule avudde mu mbeera nalagira police okutandiika okunoonyereza ku ddagala erigema ekirwadde kya Kalusu, eryaweerezebwa government ddoozi emitwalo 26,550 ku ngeri gyerwakozeseddwamu.
Obulwadde bwa Kalusu bwabalukawo gyebuvuddeko mu Disitulikiti eno awamu n’emirirano ekyawaliriza abakulembeze e Sembabule okwekubira enduulu mu government olwo nayo n’ebawereza ddoozi 26,550.
RDC Faisal Sseruwagi okuva mumbeera kivudde basawo abavunaanyizibwa ku bisolo ku maggombolola, okwanjula ebibalo ebitakwataganye naddala kumuwendo gw’Ente ogwakagemebwa, ogubadde tegukwataganira ddala n’abakulembeze abatwala amaggombolola ago.
Bibadde mu lukiiko olw’ebyokwerinda olutuuziddwa ku kitebe kya District olwetabiddwamu abakulembeze abatuula ku kakiiko ak’ebyokwerinda, ba Ssentebe b’amagombolola, ba gombolola Chief, abakessi kumaggombolola, abasawo b’ebisolo ku gombolola n’abantu abalala.
Banjudde alipoota zabwe ku ngeri obulwadde bwa Kalusu gyebukwatiddwamu mu gombolola zebatwala, wamu n’enkozesa y’eddagala erigema kalusu eryabawebwa government.
Abakulira eby’ebisolo basanze akaseera akazibu byebabadde bogera bwebiwakanyiziddwa abakulembeze b’amagombolola ng’abamu bagamba nti eky’okugema babadde tebakiwulirangako.
Ssentebe w’eggombolola ye Mitete, Ssenyonga Baker Byayi agambye nti bulijjo awulira ku bizindaalo by’omukitundu ng’abalanga n’okuyita abantu okunona eddagala lya Kalusu bageme Ente zabwe ku Shs 3000 buli doozi, songa bweyakola okunoonyereza yakizuula nga mu ggombolola ye obulwadde tebulimu era nawakanya alipooota y’omusawo w’eggombolola byawaddeyo nti aliko Ente zeyagema.
Abakulembeze b’amagombolola era bennyamidde nti amateeka gebaateekawo okutangira Kalusu teegakola, nti kuba buli lwebatambula basanga abamu ku bantu naddala abaserikale nga bapakira ente zabwe era bazitambuza nebazitwala mu butale gyebaagala.
Amyuka akulira eby’ekikugu n’abakozi ba government Arther Kiiza Nzeimana asabye babaweeyo obudde baddemu batuule n’abantu abatono babeeko kyebasalawo ku kirina okukolebwa okukendeeza obulwadde okusaasaana.
Amyuka RDC Faisal Sseruwagi alagidde Police awatali kulonzalonza eggulewo fayiro era batandiike okunoonyereza ku basawo b’ebisolo ku ngeri gyebakozesezaamu eddagala eryabawebwa.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito