Nga Obuganda bwetegekera emipiira gy’ebika bya Baganda egy’omwaka guno 2025, ebika 18 byonna bye byakewandisa okuvuganya mu mpaka zino.
Empaka z’ebika ez’okubaka zigenda kuzannyibwa okuva nga 25 okutuuka nga 27 omwezi guno ogwa April mu kisaawe e Namboole.
Empaka z’ebika ez’omupiira ogw’ebigere zigenda kutandika nga 03 omwezi ogujja ogwa May,mu kisaawe e Wankulukuku.
Engabi Ennyunga y’egenda okuggulawo empaka zino ng’ettunka n’Akasimba.
Ebika byewandisiza 18 kuliko Ndiga, Nkerebwe, Mutima Musagi, Mbwa ne Njaza.
Mpindi, Kasimba, Ngabi Nsamba, Butiko, Ngabi Ennyunga, Nakinsige, Nkusu, Njovu, Musu, Nvubu, Ngaali, Nte ne Mamba Kakoboza.
Empaka z’omwaka guno zigattidwamu emizannyo emipya, okuli omweso, ekigwo, omupiira gw’abaana abato abatasusa myaka 12 n’omupiira gwa basajja abakulu.
Engabi Ensamba ye yawangula empaka z’omupiira ogw’ebigere omwaka ogwayita 2024, ate nga Ennyonyi Ennyange ye yawangula empaka z’okubaka
Bisakiddwa: Isa Kimbugwe