Ekipampangalo kyénnyonyi eyabaddemu omumyuka wa President wa Malawi Dr Saulos Chilima; kizuuliddwa, nga bonna abajibaddemu mpaawo yalamye.
Dr. Saulos Chilima mu nnyonyi eno yabaddemu nábantu abalala 9, nga bava mu kibuga Lilongwe okwolekera Mzuzu ekya Malawi, wabula ennyonyi nebula okuva ku byuma kwe bawuliziganyiza nábasigadde ku kisaawe.
Ennyonyi eno kigambibwa nti yataataaganyiziddwa embeera yóbudde embi, eyaviiriddeko omugoba waayo okubuzaabuzibwa mu bwengula.
Omukulembeze wa Malawi Dr. Lazarus Chakwera, ayise olukungaana lwa bannamawulire n’abikira bannansi.
Presidsent Chakwera era akakasizza ensi nti amagye n’ebitongole ebidduukirize bimalirizza omuyiggo, ogwókuzuula ennyonyi eno we yagudde, era nékipampagalo kyénnyonyi bakizudde.
Dr. Chilima ava mu kibiina kya njawulo ku kya President Chakwera, wabula batta omukago okukolera awamu oluvannyuma lwákalulu ka 2020.
Dr. Saulos Chilima afiiridde ku myaka 51, era nga mu nnyonyi abaddemu ne mukyala we.
W’afiiridde abadde akiikiridde government mu kuziika eyaliko Minister Ralph Kasambara, eyafa gyebuvuddeko.#