Dr. Martin Jorem Okech Aliker, munna Uganda eyasooka okukola eddwaliro erijjanjaba amannyo mu ggwanga afudde ku myaka 95 egyóbukulu.
Dr.Alike yazaalibwa mu mwaka 1925 mu district ye Gulu.
Wafiiridde abadde omu ku bawabuzi ba President Museveni ku nsonga ez’enjawulo.
Abadde munnabyanjigiriza era munnabyanfuna omukuukuutivu.
Yaliko ssentebe wólukiiko olufuzi olwa Monitor Publications Ltd.
Yaliko Chancellor wa Gulu University okumala emyaka 10, wakati wa 2004 – 2014.
Dr. Martin Jorem Okech Aliker abadde ku bukiiko obufuzi obwébitongole ne kampuni ezénjawulo omuli coca cola, Standard Chartered bank , Stanbic bank néndala.