Eyali president wa FDC Dr.Kiiza Besigye ne munne Hajjji Obed Lutale baziddwayo ku alimanda e Luzira okutuusa nga 10 December,2024 lwanaddamu kooti.
Bannamateeka ba Besigye bategezezza nti kabasooke betegereze engeri ensonga z’omuntu wabwe gyezikwatiddwamu, olw’abamu ku bannabwe okulemesebwa okumuwolereza.
Wabaddewo okusika omuguwa wakati wa bannamateeka ba Dr Kiiza Besigye okuli Munnamateeka Kalibbala, Eron Kiiza ne Elias Lukwago ne munnateeka w’amagye mu kkooti eno ekulirwa Brig.Robert Freeman Mugabe.
Ttagali avudde ku nsonga munnamagye zayanjudde ezibadde ziremesa bannamateeka abamu abagaaniddwa okubako kyebogera olw’obutatwala certificate zabwe ezibakkiriza okukiikirira omuntu mu kkooti.
Martha Karua okuva mu Kenya yoomu kubagaaniddwa oluvanyuma lwa certificate emukkiriza okukiikirira omuntu yenna mu kkooti ya Uganda, obutagifuna mu budde.
Waliwo nebannamateeka abalala Munnamateeka wa kkooti yekinnamagye baabadde ayagala bagaanibwe okwogera.
Munnamateeka Erias Lukwago ne Eron Kiiza bambalidde kooti eno okulinnyirira ssemateeka w’eggwanga,
nebategeeza kkooti eno eyekinnamaggye erimu ebirunira bingi kubanga nenkola yaayo eyemirimu eriwo mu ngeri yabumenyi bw’amateeka.
Waliwo musajjamukulu ow’emyaka 82 Kiwanuka John Chrisestom yoomu ku babadde besowoddeyo okweyimirira Besigye.
Mukyala wa Dr.Kiiza Besigye era nga ye ssenkulu w’ekitongole ky’ensi yonna ki UNAIDS Winnie Byanyima naye abaddewo mu kooti.
Besigye ne munne baakwatibwa nga 16 November,2024 e Kenya, nebakomezebwawo mu Uganda, era nebaggulibwako emisango gy’okusangibwa n’emmundu 2 n’amasasi 8, saako n’okuba nti baali mu lukwe lw’okuperereza obuyambi bw’ebyokulwanyisa n’ekigendererwa eky’okutabangula emirembe mu Uganda.#