President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, atuuzizza Dr. Crispus Kiyonga nga Chancellor wa Makerere University ow’omunaana.
Dr.Kiyonga azze mu bigere bya Dr. Ezra Ssuruma eyawummula obuweereza buno mu mwaka gwa 2023.
Ng’enaku z’omwezi 31 August 2024.President Yoweri Museveni yalonda eyaliko minister w’ebyokwerinda era ambassador wa Uganda e China, Dr. Crispus Walter Kiyonga, okufuuka Chancellor wa Makerere University oluvannyuma lw’omwaka mulamba nga kikalu.
Okulangirira kwa Dr Kiyonga, kwakolebwa Professor Barnabas Nawangwe, omumyuka wa Chancellor mu bubaka bweyayisa ku kibanjakye ekya X.
President Museveni mu kutuuza Dr Kiyonga, amukwasizza omuggo ogw’obukulembeze bwa ssetendekero, ssemateeka afuga ssetendekero, era naamutuuza ne muntebe y’obwa Chancellor mu bujjuvu.
Bwabadde ayogerako eri abantu abeetabye ku mukolo guno, ssentebe w’olukiiko lwa ssetendekero wa Makerere, Lorna Magala, atenderezza obuwereza bwa Prof Dr Ezra Suruma eyawummudde obuweereza, era naategeeza nti Dr Kiyonga wakutandikira waakomye olwobukugu bwalina mu buwereza bwabaddemu mu bifo ebyenjawulo.
Ku mukolo guno era Makerere University kwEtongolezza ekizimbe ki Main Building ekimanyiddwa nga Ivory Tower ekyali kyakwata omuliro mu September, 2020.
Bisakiddwa: Ddungu Davis