Ssaabalabirizi w’eKanisa ya Uganda The Most Reverand Dr. Samuel Kazimba Mugalu acoomedde government ya Uganda olw’okuwamba amasomero agatandikibwawo ekanisa nga gayambibwako government, agamanyiddwa nga church founded – government aided Schools, ng’eremesa ebiteeso by’e kanisa.
Ssaabalabirizi Kazimba abadde ku ssomero lya Ndejje Senior Secondary School gyakulembeddemu okusaba, ku mukolo gw’okwebaza n’okusiibula abadde omukulu w’essomero lino Canon. Dr. Charles Kahigiriza gyawereza okumala emyaka 11.
Ssabalabirizi ayongeddeko nti government okuvaayo negaana abazadde okubaako kyebatoola ku lw’obulungi bw’amasomero gabwe sikituufu, era nasaba nti bweguba gutyo wakiri bagaleeke gafuuke ag’obwananyini bbo bekolere ebintu byabwe.
Omwami wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza Bulemeezi Kangaawo Ronald Mulondo asiimye Dr. Kahigiriza olw’okwewaayo naweereza obuganda mu ngeri ezenjawulo wamu n’okusoosowaza ensonga ssemasonga etaano mu buwereza bwe.
Dr. Kahigiriza agenze okuwumula obusomesa nga akulungudde ebbanga lyaka 35 ng’asomesa abaana b’eggwanga.
Mu Ndejje SS gyawumulidde amazeeyo emyaka 11, okuva mu mwaka gwa 2013.
Yakulirako eesomero lya Nakyenyi S.S ne Kijjjabwemi S.S.
Bisakiddwa: Taaka Conslata