Ekibiina kya Democratic Party kyaddaaki kyongezaayo ennaku ez’okuggyayo empapapula zaabaagala okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo ,okubadde kukomezebwa olwaleero nga 30 April,2025.
Ekireetedde abakulu mu kibiina okwongezaayo enteekateeka eno kekazito akaabatereddwako abegwanyiza okuvuganya ku bifo ebyenjawulo, nga bagamba nti baaweereddwa ennaku ntono nnyo.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya DP Gerald Siranda agambye nti abantu bangi baabawandikidde nga bagamba nti nga babategeeza ku nsonga eno ey’obudde, kwekusalayo okwongezaayo ennaku.
Ssiranda agambye nti abantu 207 bebakaggyayo empapula ku bifo ebyenjawulo eby’obukulembeze bwa DP.
President wa Dp aliko Nobert Mao yagyeyo empapula ku bwa presidenti, era naategeeza nti tewali asobola kutwala ntebe ya Dp nga waali.#