Ekibiina ki national Unity Platform NUP kimeggeddwa mu kulonda omumyuka wa sipiika wa District ye Mityana ng’ekibiina kya Democrat party kyekibasuzizza ekifo kino.
Mu lukiiko olukubiriziddwa sipiika Catherine Nalweyiso, munna DP era kansala akiikirira egombolola ye Kakindu John Mary Mawejje alangiriddwa ng’omuwanguzi ng’amezze Tadeo Kawuki owa NUP nga ye kansala akiikirira gombolola ye Kikandwa.
DP ewangudde n’o bululu 19, NUP efunye 12.
Wadde nga ba kansala ba NUP babadde 13 kyokka obululu buvuddeyo 12.
John mary Mawejje alondeddwa wakudda mu bigere by’omugenzi Aloysious Kyeyune Kitikyamuwogo mungu gweyayita gyebuvuddeko.
Omumyuka wa sipiika omulonde Johnmary Mawejje olumaze okulangirirwa, asubizza okukuuuma omukululo gwa Kitikyamuwogo era n’asekereraababadde balowooza nti Dp yaggwamu.
Mu kulonda okwasooka okwaleeta omugenzi Kitikyamuwogo ng’ono yali wa Nup, yali yawangula ekifo kino ku bululu 19, ate Munna DP on Mawejje yafuna obululu 12.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi