Omuteebi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Derrick Kakooza, mu butongole yegasse ku club ya KF Terbuni egucangira mu liigi y’ekibinja eky’okusatu ey’eggwanga lya Albania.
Derrick Kakooza abadde yasemba kuzannyira club ya Coffee eya Ethiopia kunkomerero ya 2023, wabula omwaka oguwedde 2024 yagumazeko apookya nabuvune.
Ettuttumu Derrick Kakooza yalifunira ku ttiimu y’eggwanga eyabazannyi abatasusa myaka 20 eya Uganda Hippos, nga yali musaale nnyo mu kuyambako Uganda Hippos okutuuka ku final ya AFCON U20 mu 2021 e Mauritania.
Derrick Kakooza era mu mpaka ze zimu ye yasinga n’okuteeba goolo ennyingi zaali 6.
Yazannyirako mu Lativia, Finland ne Misiri, ate mu Uganda yazannyirako club ya Police FC.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe