Ekisinde ky’ebyobufuzi ekiggya ki Democratic Alliance kikinogaanyiza nti kyetegefu okukolagana nabuli kibiina ky’ebyobufuzi oba ekisinde kyonna ekyagala enkyuukakyuuka y’eggwanga, okutaasa ebiseera byeggwanga bino ebyomumaaso.
Ekisinde kino kyatongozebwa wiiki bbiri eziyise, nga kigatta ebisinde okuli ekya My Leader, DP-Block n’ebibiina byebyobufuzi ebitali bimu.
Omukulembeze w’ekisinde kino Mathias Mpuuga Nsamba agamba nti okwogera n’okukolagana kuno tekuggya kukoma ku bibiina ebiri ku ludda oluvuganya government lwokka.
Wabula n’ekibiina ki NRM bakwogera nakyo mu lwatu nga byonna bikolebwa ku lwobulungi bw’eggwanga Uganda okutaasa eggwanga lino akatuubagiro k’ebyobufuzi n’obukulembeze bwalyo.
Owek Mathias Mpuuga Nsamba agamba nti wabula omulundi guno enkolagana eno erina okubaako emiramwa gyebaessimbyeko essira sso ssi byakinyumu.
Agambye nti yamaze okuwandiikira ebibiina by’obufuzi, n’ebisinde ebirala bamuwagire mu nkyuukakyuka mu mateeka g’ebyokulonda gaayagala galeetebwe gatereeza ekisaawe Ky’okuwenjezaamu akalulu omwaka ogujja.
Ku nsonga yaboogerera ekisinde kino nti kigenda kunafuya ebibiina byebyobufuzi, Owek Mathias Mpuuga agambye nti kasita ebibiina byebyobufuzi binalemererwa okutuukiriza emiramwa egibitandisaawo, ebibiina byebyobufuzi bingi bikyatondebwawo.#