Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Cricket mu Uganda ekya Uganda Cricket Association, krangiridde nti ttiimu y’eggwanga eya Cricket Cranes egenda kwetaba mu mpaka za Bilateral Series ezigenda okubeera mu kibuga Doha ekya Qatar omwezi guno ogwa March.
Empaka zino zigenda kumala ennaku 8 nga zizanyibwa, era Uganda Cricket Cranes egenda kuzannya omuzannyo gwayo ogusooka nga 16 omwezi guno ogwa March.
Zino z’empaka Cricket Cranes z’egenda okusooka okwetabamu omwaka guno 2023.
Cricket Cranes ebadde etendekebwa okwetegekera empaka zino, ng’etendekebwa omumyuka w’omutendesi Jackson Ogwang mu kiseera omutendesi ow’okuntiko Lawrence Mahatlane yabadde mitala wa Mayanja mu luwummula.
Mahatlane yakomyewo ku butaka era alangiridde ttiimu egenda e Qatar.
Ttiimu eyanjuddwa kuliko; Kenneth Waiswa, Simon Ssesaazi, Brian Masaaba, Pascal Mulungi, Roger Mukasa, Cosmos Kyewuta, Juma Miyaji,Henry Ssenyondo,Frank Nsubuga,Riazat Ali Shah,Alpesh Ramjani,Ronak Patel,Ronald Lutaaya ne Cyrus Kakuru.
Cricket Cranes egenda kweyambisa empaka zino okwetegekera empaka ezenjawulo z’egenda okwetabamu omwaka guno okuli eza ICC Men’s World Cup qualifiers ezinabeera e Namibia.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe