Banywanyi b’omubaka wa Butambala Mohammed Muwanga Kivumbi bamukyaliddeko mu kkomera e Kitalya okulaba embeera gyalimu, n’okubaako byeboogeramu naye ebikwatagaa n’omusango gw’obuttujju government gweyamuggulako.
Kubaddeko Commissioner wa Parliament Owek Mathias Mpuuga Nsamba era nga ye mukulembeze w’ekibiina ki Democratic Front,munnamateeka Asuman Basalirwa nga ye mukulembeze w’ekibiina ki JEEMA ne munnamateeka Owek Medard Lubega Ssegona omubaka wa Busiro East.
Owek Mathias Mpuuga Nsamba agambye nti omubaka Muhammed Muwanga Kivumbi muganda we gwatayinza kulekerera kulwana yekka okuvvuunuka ebizibu byalimu, naagamba nti balina okutambulira awamu okulaba nti bamuyambako okusomoka ebizibu bino.
Owek Medard Lubega Ssegona agambye nti bagenda kulwaana Masajja okulwanirira muganda wabwe
Munnamateeka Asuman Basalirwa agambye nti okulwanirira mulwanyi munnaabwe gwemulimu omunene ddala gwebalina mu kiseera kino, era gwegubatutte e Kitalya.
Abasatu bano, e Kitalya bamazeeyo esaawa eziri mu bbiri nga bawayaamu ne Mohammed Muwanga Kivumbi gwebaludde nga batambulira wamu mu nsonga eziwerako naddala ez’ebyobufuzi n’endala.
Omubaka Mohammed Muwanga Kivumbi government yamukwata nemuggulako emisango okuli ogw’obutujju olw’emivuyo egyaali mu bitundu bye Butambala egyaava ku kalulu k’okulonda omubaka wa parliament akiikirira Butambala nga 15 January,2026.
Emivuyo gino gyaviirako abantu 7 Okuffiira mu maka gomubaka Muwanga Kivumbi, n’abalala nebasigala n’ebisago eby’amaanyi.#













