Olukiiko olufuzi olwa club ya Villa Jogo Ssalongo olwa Villa Members Trust, lulangiridde akakiiko akagenda okutambuza eby’okulonda obukulembeze obuggya obwa club eno.
Abantu 3 be balangiriddwa ku kakiiko kano, nga kakulirwa Brian Kajuba, ate bamemba ye Brandon Katura ne Desire Mukisa.
Mu ttabamiruka wa Villa Jogo Ssalongo eyatudde ku Sunday nga 01 March,2026 ku East High School e Ntinda, abakiise baasazeewo nti okulonda kugenda kubeerawo nga 22 March,2026.
Abavuganya ku ntebe ennene eya president, ye president aliko Hajji Omar Ahmed Mandela, wabula nga tekinakakasibwa oba ng’anaavuganyizibwa olw’obukwakkulizo obwatereddwawo okuvuganya ku ntebe eno.
Omuntu yenna avuganya ku bwa president bwa Villa Jogo Ssalongo ateekeddwa okuwaayo ensimbi obukadde bwa shs 100 ate nga sizakumuddizibwa.
Farouk Meyiwa yoomu ku begwanyiza entebe eno, kyokka mu kulonda okwayita yalemwa okutukiriza akakwakulizo aka million 19 ezasabibwa.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













